E Mukono Babbye Ensimbi Ne'bintu

0
369

Abazigu abatanategeerekeka bazinze ebyalo 2 okuli Ngoda ne Kikulu byona ebisangibwa mu ggombolola y’e Goma mu mukono, nebamenya ennyumba z’abatuuze era nebakuuliita nebyebasanzeemu. Mu bibbiddwa mubaddemu ebintu ebintu ebikalu n’ensimbi enkalu. Okusinziira ku batuuze, abazigu baalonzeemu nyumba za bapangisa eziri mu bikomera nga buli gwebatuseeko bakira bamusaba ensimbi n’ebintu ebirala olwo abo abatalina balese babasaze ebijambipiya era wetwogerera bapooca na biwundu.