Omuserikale Muhoozi Afudde mu Kabenje

0
354

Omupoliisi omu afiiridde mu kabenje agudde ku luguudo lw’e katosi, ye ne banne bwebabadde bagoba ababbi. Abakuuma ddembe bano baakedde bwannawankya nebeesuula mu ddene neboolekera e Ntenjeru ku luguudo lw’e Katosi mu disitulikiti y’e Mukono nga bawondera emmotoka ekika kya Mark II ebadde eteeberezebwa okubaamu ababbi era oluvannyuma lw’okuyimiriza mmotoka eno abadde agivuga n’agaana okuyimirira, bongedde okubagoberera ku sipiidi era egoba ababbi, kyokka mmotoka omubadde abapoliisi eremeredde omugoba waayo era n’eva ku luguudo neyeevulungula okukkakkana nga omu afiiriddewo mbulaga.

More News