Ebbibiro Lya'masannyalaze Erya Isimba Lifunye Abalabiriizi Abapya

0
605

Ebbibiro ly’amasannyalaze erya Isimba kyaddaaki lifunye ba Nampala abapya abanaalabirira emirimo egikolebwayo. Kino, abatwala ebbibiro lino aba Uganda Electricity Generation Company Limited (UECGL) bagamba nti kyakwanguya emirimo egyali gyesiba bukya contulakiti ya Nampala omukadde eggwako. Kinajjukirwa anti abalai balondoola emirimu ku bbibiro lino, gavt yabanaabira mu maaso ng’emirimu bakola gadibe ngalye ng’embwa etunda omuzigo.