Sudhir Alabiseeko mu Kakiiko Kuby'ettaka Eribbe

0
482

Nagagga Sudhir Ruparelia agasimbaganye n’akakiiko k’omulamuzi Catherine Bamugemereire akanoonyereza ku kibba ttaka ekifumbekedde mu Ugaanda. Agenze okufuluma ng’akakiiko kanyeenya mitwe olw’engeri abalina ensimbi gyebakozesaamu olukujjukujju ne bezza ettaka ly’abantu abateesobola bulungi.