Emirambo Ena Gikomezeddwawo Kuno Okuva e Somalia

0
326

Emirambo gy’abasirikale ba UPDF abattibwa abajambula ba al shabab ku pasika gikomezeddwawo ku butaka. Ennyonyi ekika kya boeing 737 era ng’abamu ku boluganda lw’abagenzi n’abakulu mu magye ga UPDF babaddewo. Omwogezi w’eggye ly’eggwanga Brig. Richard Karemire agumizza Bannayuganda obuteeralikiriira ku byabadde e Somalia kuba eggye likyanyweza ebyokwerinda by’eggwanga. Wabula amagye gategeezezza nti emirambo gy’abajaasi emirala bali mu nteekateeka ya kugikomyawo.