Nambooze Okuumibwa Nga Lulimi, Ababaka B'e Buganda Basobeddwa

0
710

Abakaba ba paalamenti abava mu Buganda bawadde poliisi lwa nkya lwokka okuta munnaabwe Betty Nambooze agende ajjajanbwe mu Buyindi ng’eddwaliro ly’e Mulago bweryasazeewo. Mu kiseera kino poliisi ekyalemezza Nambooze ku kitanda e Kiruddu newankubadde abasawo baakakasizza nti Nambooze yetaaga okulaba abasawo be mu Buyindi mu bwangu.