Omujaasi Ndahura Yakolanga ne Kayihura

0
726

Kooti enkulu eragidde amagye n’ekitongole ekikesi ekya CMI okuleeta munnamagye Col. Ndahura Atwooki mu maaso g’omulamuzi bwaba Alina omusango ogumuvunaanibwa.
Kino kiddiridde mukyala we Sara Ndahura ngaayita mubanamateeka be aba Evans Ochieng n company advocates okwemulugunya kubula kwa bba nga ate ngawulira yakwatibwa ekitongole kyamagye ekikessi  kyokka nga taleetebwa mu kkooti newankubadde obudde obwessaawa 48 bwaggwaako.
Ndahura mu kiseera kino yaakamala ennaku 14 mu nkomyo.