Abalamuzi Bajjukidde Ben Kiwanuka

0
768

Essiga eddamuzi olwaleero lijjukidde Ben Kiwanuka Ssabalamuzi wa Ugannda eyasooka era nattibwa ku mulembe gwa Pulezidenti Amin eyamuwa obwa Ssaabalamuzi. Kumukolo ogwenjawulo ogubadde mukibangirizi kya kkooti enkulu wano mu Kampala abaana b’omugenzi Kiwanuka kwebasinzidde nebasaba ekeleziya etandike ku nteekateeka z’okulangirira kitaabwe mu lubu lwabeesiimi olwokuyimirirawo ku mazima.