Abasiraamu Bakubagizza Ewa Kirumira

0
581

Abakulembeze bo buyisiramu okuva mu disitulikiti ye Masindi bakyaddeko mu mumaka g’omugenzi Muhammed Kirumira eya kubwa amasasi mu wiki ewedde okubakubagiza olwo buzibu obwa batukako okuvibwako omwagala wabwe. Bano nga bakulembeddwamu disitulikiti kadhi we Masindi Sheikh Yahaya Mugisa basabye poliisi okunonyereza kwaayo ku bantu abatta Kirumira etandikire kwaabo bazze asongamu olunnwe nti bamuli bubi bweyali nga tanatumulwa.