Bobi Wine Nga Tava ku Mikutu

0
427

Olunaku olw’eggulo, omubaka wa Uganda mu America Mull Sebujja Katende yasinzidde ku mukutu gwa Voice of America, naavumirira engeri bannayuganda gyebalagamu obutali bumativu wano mu ggwanga gyagamba nti yeeviiriddeko n’abakuumaddembe okubakwata mu ngeri ebalumya. Ku mukutu gwegumu n’omubaka Robert kyagulanyi kweyategeerezza nti mwennyamivu okulaba nga abantu ba bulijjo n’abakulembeze baabwe batulugunyizibwa, ekizibira ebibaluma okutuuka ku bekikwatako.