Wuuno Awonye Okukukusibwa

0
756

Bannayuganda 54 bebanunuddwa okuva mu ggwanga lya Kenya ku muliraano nga kigambibwa nti baabadde bakukusibwa. Kitegeezeddwa nti ababanunuddwa babadde boolekera ggwanga lya Oman eritalina nkolagana ne Uganda naddala bwegutuuka ku byemirimu. Bano bakwatiddwa nga bateekateeka kulinnya nyonyi wali ku kisawe kya Jomo Kenyatta e Nairobi nga balina ebiwandiiko ebibatwala e bunayira wabula nga bigingirire.