Kigo Kati Wa Bagagga Booka
Kampuni ya Henan Guoji industrial group ekwasizza obwa kabaka bwa Buganda mu Butongole enyumba eziwera 41 ezisoose okuggwa kwezo 200 ezirina okuzimbibwa mu pulojekiti y’amyumba esangibwa e Kigo. Project eno ey’obukakadde bwa doola obusoba mu nkaaga yakumalirizibwa mu myaka etaana.