Akacankalano mu Kibuga Wakati

0
842

Emirimu gisannyaladde enkya ya leero mu kibuga Kampala ng’abagoba ba Taxi balwanagana n’aba KCCA ababadde basolooza ensimbi 120,000/ egya buli mwezi taxi ezikolera mu Kampala zezirina okusasula. Emyezi esatu egiyise aba takisi baali beediima okusasula nsimbi zino nga bagamba omusolo guno pulezidenti yagubasonyiwa.