Minisita Namuganza Agenze Gyebaamugaana, Abamuwakanya Bafunye Empi

0
65

Obwakyabazinga ba Busoga bubotodde ekyama nti bw’agaanye Sipiika Rebecca Kadaga okubaako ky’ayogera ku butakkaanya wakati we ne Minisita omubeezi ow’ebyettaka Persis Namuganza ate n’ebigambo minisita y’omu byeyagogedde ku Kyabazinga wa Busoga Wilberforce Gabula Nadyope IV. Mu buwufu bwebumu, waliwo abayizi b’e Makerere abavuddeyo nebasaba Obwakyabazinga okuvaayo ku nsonga zino. Bano batubuulidde nti beegattira mu kibiina ki Basoga Nseete, baweze obutassa mukono okutuusa nga Namuganza yeetondedde Obwakyabazinga olw’ebigambo byeyayogedde. Bano wabula poliisi tebaganyizza kutaataaganya mirimu n’ebakwata.

LEAVE A REPLY

Please enter your comment!
Please enter your name here