Aba Green Hill Academy Bandivunaanibwa – Gavumenti

0
1112

Gavumenti nate eggudde buto emisango emirala ku basibe abavunaanibwa okuba n’omukono mu kutemulwa kw’abakulembeze b’obusiraamu.
Ssaabawaabi wa gavumenti aliko abasibe 19 kw’abo 32 balonzeeyo, abagguddeko emisango emirala 2 omuli ogw’okulya mu nsi yabwe olukwe n’ogwokusirikira ebikolwa eby’obutujju bye baali bamanyiiko.
Bano gavumenti yabaggulako dda emisango emirala 4 egyekuusa ku butemu buno.