Abaana Basse Nnyabwe, Nabo Battiddwa

0
1014

Abaana abalenzi 2 bakkidde nnyaabwe ne bamutta mu bukambwe, oluvannyuma abatuuze babayizze nabo ne babamiza omusu. Entiisa eno egudde ku kyalo Budda mu district ey’e Bukomansimbi, ng’ettemu lino lireseewo akasattiro ka maanyi ku kyalo. Abaana okutta nnyaabwe abatuuze bagamba nti obuzibu buvudde ku nkaayana za ttaka.