Kabaziguruka Akomyewo Mu Kkooti

0
631

Omubaka wa Nakawa Micheal Kabaziguruka ne basibe banne bawanvuyizza ku maloboozi nga bawakanya eky’okuwozesebwa kkooti y’amagye.
Kabaziguruka ne banne gavumenti yabaggulako gwa kwegeza mu kuwamba gavumenti ya president Museveni. Omulamuzi asanze akaseera akazibu okukkakkanya abasibe bano, abamu ku bo nga baali bajaasi, era bakira bawanyisiganya ebigambo ne puliida wa gavumenti.