Eddwaliro Ly'e Nakawuka Liggaddwa

0
677

Oluvannyuma lwa president Museveni okugoba abasawo ku ddwaaliro ly’e Mpummudde – Nakawuka, ab’obuyinza basazeewo okugira nga baggala eddwaaliro lino. Abatuuze kati ate ge bakaaba ge bakomba, bebuuza wa gye banaddukira okufuna obujjanjabi obw’amangu wakati mu mbeera eno.
President Museveni eggulo yagobye abasawo n’abakozi b’eddwaaliro eryo, oluvannyuma lw’abatuuze okumusindira ebizibu ebiri mu ddwaaliro eryo, omuli n’abasawo okuggya sente ku balwadde. Mu kiseera kino eddwaaliro ssibe, okuggyako mateneti abakyala gye bazaalira, era abasirikale be balikuuma.