Enzijanjaba Ekyali Yegeyege e Naguru

0
1060

Ebyenzijanaba mu ddwaliro ly’e Naguru eryazimbibwa bachina bikyali bizibu ddala era oyinza okugamba nti byakuwadawadako, eno ebizibu nga omujjuzo gw’abalwadde bebaana baliyo, abasawo basiiba baayuuya olw’ebbula ly’emere, ebyuma mu Sweeta mu dwalilo lino bimaze emyaaka 4 beddu nga byaffa dda ate nga abalina okubikanika tebaliiwo, so nga n’ebindi biri mu luchina abasawo lwebatategeera.
Ababaka abatuula ku kakiiko ka paalimenti ak’ebyobulamu olwaleero balambudde eddwalilo lino, kyokka eno basanze abasawo bawanda muliro olw’embeera embi mwebakolera, era basuubizza ababaka okwekalakasa singa ensonga zaabwe tezikolebwaako.