Okufuula Kaweesi Omwogezi wa Poliisi Kitegeeza Kii?

0
604

Ku ntandikwa ya sabiiti eno, ssabaduumizi wa poliisi Gen. Kale Kayihura yawa omuserikale we akulira abakozi Andrew Felix Kaweesi eddimu ly’okukulira ekitongole ekyogezi mu poliisi.
Kino kyaggira mu kiseera nga poliisi egezaako okuddaabiriza erinnya lyayo olw’emivuyo egizze gibaawo omwali okukuba abawagizi ba DR Besigye emiggo n’ebirala.
Wabula abakugu n’abantu b’abulijjo bakubye tooki mu bukulembeze obwaweereddwa Kaweesi nga abalala bagamba nti omulimu ajja gusobola sso nga abandi bagamba nti yaweereddwa kubikkilira kitongole kya poliisi.