Guno Mulimu Gwa Gavumenti – Ssabasumba

0
777

Ssaabasumba w’essaza ly’e kelezia erya Kampala, Dr. Syprian Kizito Lwanga akkedde kukulemberamu bakristu okwoza mmotoka ng’asonda ensimbi ez’okuzimba woodi ennjanjabirwa ab’obubenje mu ddwaliro eNkozi.
Eddwaliro ly’e Nkozi linoonya obukadde bwa siringi 600 okuzimba waada eno okutaasa abantu abangi abaddusibwayo nga bafunye obubenje ku lw’e Masaka.