Minisita Avumiridde Abeekalakaasiza ku Kkooti Lwa Kayihura

0
563

Gavumenti ya Uganda evumiridde ne ssekuvumirira ebikolwa by’abantu abaazinda kkooti y’e Makindye wiiki ewedde, ne balemesa kkooti okuwozesa ssaabaduumizi wa poliisi Gen Kale Kayihura ku misango gy’okutulugunya bannayuganda egimuvunaanibwa.
Minisita w’ensonga z’omunda Gen Jeje Odongo agambye nti enneeyisa ya bano abeeyita abawagizi ba Kayihura, ne batuuka n’okugajambula ba puliida evvoola ssemateeka.
Minisita agambye nti kkooti zirina okulekebwa okukola omulimu gwazo nga zeetengeredde awatali kutiisibwatiisibwa.