Omusango Gwa Kabaziguruka Teguwuliddwa ku Kkooti

0
1003

Kkooti y’amagye n’olwaleero eremeddwa okutandika okuwulira omusango gw’omubaka wa Nakawa Micheal kabaziguruka, awerennemba n’ogwokwegeza mu kuvuunika gavumenti ya mwami Yoweri Museveni.
Micheal Kabaziguruka avunaanibwa wamu n’abasibe abalala 23, naye olubadde okutuuka mu kkooti gavumenti n’esaba bagyongere obudde kubanga ekyanoonyereza.
Kkooti ebazzizzaayo ku mere e Luzira, okutuusa mu gw’omwenda.