Baguma Talabiseeko mu Kkooti, Aba Sebuufu Banyiivu

0
632

Abakedde ku kkooti ya Buganda road mu Kampala okulaba omupoliisi Aaron Baguma mu kaguli, bavuddeyo ng’emimwa gibali mu nnyindo olwa Baguma obutalabikako nga bwebabadde basuubira.
Baguma ono eyali aduumira poliisi ya CPS mu Kampala avunaanibwa ne nnyini kibanda kya mmtoka ekya Pine, okwekobaana ne batta Betty Katusabe olw’okulemwa okumalayo ensimbi z’emmotoka gyeyali aguze mu kibanda kya Muhamed Ssebuufu.