Ssaabalabirizi Alabudde ku Kukukusa Abantu

0
1171

Ssaabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda his grace Stanley Ntagali yennyamidde olwokukusa abantu okweyongedde ennyo mu ggwanga kwagamba nti kususse okutyooboola ekitiibwa ky’omuntu.
Sabalabirizi era asabye abazadde obutawuddisibwa kuwaayo baana babwe nti batwalibwe okukuba ebyeyo, naye nga gyebatwalibwa babasindika mu buddu.
Abedi Bwanika eyeri yesimbawo ku bwa Pulizidenti wano mugwanga mu kulonda okwagwa avumiridde ekya bakulembeze okwelowoozangako bboka nga tebanalowooza ku bantu ababalonda.