Teri Ndagaano Wakati Wa Uganda ne South Sudan

0
680

Ababaka abatuula ku kakiiko ka palamenti akebyobusubuzi bawunikiridde bwebawulidde nti gavumenti yalimba egwanga nti baakola endagano ne governmnet ya South Sudan okusobola okuliyirira bannayuganda abasubuzi abafirwa ebintu byabwe mulutaalo lwe South Sudan. Ababaka ela bewunyiiza okulaba nga waliwo olukalala lwabantu abaliyirirwa ensimbi nga obukadde 14 obwa doola za America nga tebaberangako na business yona e south sudan.