Museveni Ayise Ababaka Abalemesa Kakande Lwera

0
1176

Omukulembeze w’eggwanga YK Museveni ayise bukubirire ababaka abatuula ku kakiiko akalondoola obutonde bw’ensi n’obugagga obw’omuttaka, mu maka g’obwa Pulezidenti Entebbe.
Kirowoozebwa nti ensonga enkulu ebayisizza mu maka g’oba Pulezidenti yeekusa ku nsonga ya Paasita Kakande okuyitibwa mu kakiiko kano annyonnyole ku byokusima omusenyu mu lwera, ekikontana n’amateeka agakuuma obutonde.