Abasawo Bagaanye Okudda Lwa Kuggala Makerere

0
518

Okuggalwa kwa Makerere University kuleese akanyamberege, era eby’obujjanjabi mu malwaliro agamu byolekedde okukosebwa, olw’abayizi abasoma obusawo okugaana okudda ku mirimu.
Agava mu ddwaaliro ekkulu e Mulago gagamba nti omuwendo gw’abasawo gukendedde, kubanga abayizi abayambako okuweereza mu ddwaaliro tebaliiyo.
Minisita w’ebyenjigiriza Janet Kataha Museveni alagidde abayizi abasoma obusawo badde mu malwaliro, kyokka bano balayidde obutadda mu malwaliro kubanga bayizi b’e Makerere ate nzigale.