Alipoota Eruma Gavumenti ku Bonna Basome

0
1268

Kizuuliddwa nti eby’enjigiriza bikyali bibi nnyo mu bitundu ebisinga obungi, nti era amagezi bwe gataasalibwe mu bwangu eggwanga lyolekedde akaseera akazibu ennyo.
Bannakyewa abalwanyisa enguzi aba Anti-corruption coalition be bafulumizza alipoota enkambwe, nga banonyerezza ku bitundu by’e Busoga, obukiikakkono ne Karamoja.
Kizuuliddwa nti ku mulembe guno ogwa tekinologiya wano mu Uganda abaana bangi bakyasomera mu bisiikirize by’emiti, ate mu bitundu ebirala abayizi batuula wansi ku ttaka.