Amagye Gafuuzizza Enkambi Ya Bakirumira Mutima e Kasese

0
1165

Eggye ly’eggwanga elya UPDF nga liyambibwako ekitongole kya Poliisi bitandise ebikwekweto nga baffeffetta abo bonna abalowoozebwa okuba ba lumira mwoyo abatabangudde Kasese n’omuyiggo ku mmundu ezaawambibwa ku baserikale ba Poliisi nga batirimbuddwa ogwatandika ku lwomukaaga gugenze okuweza olunaku olw’okutaano nga emmundu eziwera zizuuliddwa.
Mu bizuuliddwa mubaddemu emmundu ssatu ekika kya AK47, amasasi agawera n’ebyokulwanyisa ebirala omubadde bbomu ez’eccupa nga bino byonna bijjiddwa mu nkambi emu esangibwa ku kyalo Rwesororo.
Kyokka bakakasizza nti ekikwekweto kyakweyongera mu maaso.