Emmundu Esiibye Etokota e Kasese, 14 Bafudde

0
708

Munaana ku bakuumi b’obusinga bwe Rwenzururu entamu ezaabwe bavunisse dda, nga byonna bivudde ku kaleega bikya akabaddewo amagye bwegalumbye olubiri lw’omusinga okuwenja abagambibwa okuba nti bebali emabega w’obubinja obwefudde mukoko e Kasese.
Kigambibwa nti mubafiriddwa obulamu olwaleero kuliko ne bofiisa ba Poliisi babiri. Embeera kati yabukakamu wabula amagye gagamba nti buli kimu bakikutte kanabwala.