'FUFA' Ya Walusimbi Ezeemu N'erumba Magogo

0
745

Bannabyamizannyo nate beesuddemu julume ne balumba ekitebe kya ky’omupiira ekya FUFA e Mengo, nga babadde bategese okukubawo olukiiko lwa bannamawulire. Police eyitiddwa bukubiririre n’ebalemesa okuyingira. Bano abakulembeddwa Dan Walusimbi, beemulugunya ku nsonga nnyingi naddala president wa FUFA Moses Magogo nti entebe agituddemu mu bukyamu.