Kiggundu Annyuse Ogwokulondesa

0
783

Abadde ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda Alhaji Eng Dr Badru Kiggundu mu butongole awummudde ku mulimu ogwo oluvannyuma lw’okuweereza mu kisanja kya myaka 14. Dr Badru Kiggundu asiibudde bannayuganda ne yeenyumiriza mu birungi ebituukiddwaako ng’ali mu kakiiko ako, ate n’anokolayo n’ebisomooza ebingi byalese mu kakiiko ako. Wabula ono asigadde yeekokkola bannabyabufuzi abamu oluusi ababaddenga bamufuukira omuziziko omunene, ate n’asaalirwa nnyo okuwummula nga tebategese kulonda kwa nkiiko ez’ebyalo.