Ensimbi Z'abakadde Ddala Bazibba

0
1019

Wabaddewo okukangula ku malobozi mu lukung’ana lw’ababaka oluyitiddwa okubannyonnyola enteekateeka ya gavumenti ey’okugabira abakadde ensimbi buli mwezi w’etuuse ng’ababaka bagamba nti teganyudde bakadde yadde n’akamu.
Ababaka kibeewuunyisizza okulaba nti ate obufere bujjudde mu nteekateeka eno nga kati abavubuka bebali mu kufuna ssente zino mu kifo ky’abakadde okuziganyulwamu.
Bano bagambye nti mu district ezisinga, abakadde abandifunye ssente zino ssi bebazifuna nga kati enkalala ezisinga zijjuddeko bavubuka.