Akasiimo Gaali Maanyi Gaffe

0
1213

Eyali saabawolereza wa gavumenti Peter Nyombi akawangamudde bwategezezza akakiiko ka paalamenti akalondoola emirimu gy’ebitongole bya gavumenti nti akasiimo k’obuwumbi 6 obwaweebwa abantu ab’enjawulo bwaali bweyamo bwa president Museveni.
Ono agambye nti president yabagamba nti bakole nnyo okuwangula omusango ajjakubasiima era bwegwagwa eyali omumyuuka we Fred Ruhindi kwekuwandiika okujukiza president akalagaane.