Ebipya ku Ssente Z'akasiimo

0
765

Ebyama ebitiisa byongedde okuzuuka mu kunonyereza okugenda mu maaso ku kasiimo omukulembeze w’eggwanga keyawa abakungu ba gavumenti a 42, olwokuwangula omusango gwa amafuta e bungeleza.
Ebizuliddwa ababaka ku kakiiko ka palaamenti akalondoola entambuza y’emirimu mu bitongole bya gavumenti aka COSASE biraga nti ensimbi ezaagabanibwa zaali Obuwumbi 94 sso ssi Mukaaga ogumanyiddwa.