Ingrid Simwagala Mu Kalulu Ka EALA – Muntu

0
916

Akalulu ka EALA akabindabinda kongedde okwabuluza mu kibiina kya FDC oluvannyuma lwa Ingrid Kamateneti Turinawe okukomba ku kwebaza emmere nti ssi waakuva mu lwokaano ng’ekibiina bwekyamusabye.
Pulezidenti w’ekibiina kino, Mugisha Muntu bino birabise nga bimutabudde, ne yeewunya emitima gy’abantu naddala ate abalina obukelembeze mu FDC.