Poliisi Yeetonze Lwa Nnyonyi Eyatomedde Enju

0
674

Poliisi y’eggwanga yeeyamye okuzimba ebitundu by’ennyumba ebyamenyese gattako n’okuzzaawo akasolya kaayo akaayononeddwa ennyonyi ya police ku lunaku olwa balaza e Mutungo, Bbiina.
Omwogezi w’ekitongole kino Andrew Felix Kaweesi ategeezezza nti wiiki eno w’enaggweerako, nga bategedde obungi bwa ssente bw’ebintu ebigenda okuzzibwawo.