Abee Bibanja Mwe Mulidde, Buganda Yaakugaba Liizi ku Ttaka

0
1172

Ssaabasajja Kabaka empologoma ya Buganda Ronald Muwenda Mutebi II asiimye nti buli musenze ali ku ttaka lye nga yeewandiisa n’ekitongole kye eky’ebyettaka ekya Buganda Land Board aweebwe ekyapa ekimukakasa obwananyini ku ttaka lino, ku liizi ya myaka 49.
Mu nteekateeka entongozeddwa kamala byonna wa Buganda Charles Peter Mayiga wali ku mbuga enkulu ey’obwakabaka, nga etuumiddwa ‘’ekyapa mu ngalo’’, Buganda etunuulidde okusooka abantu abo 130,000 abewandiisa mu nteekateeka eyasooka.