Abajuna Abaana B'oku Nguudo Mwerinde

0
714

Ababaka ba paalamenti abatakabanira eddembe ly’abaana nga beegattira mu mukago ogwa Uganda Parliamentary Forum for Children basabye ekitongole kya KCCA okwanguyirizaako okuteeka mu nkola eky’okutandika okukwata abantu abagaba ssente eri abaana b’oku nguudo mu Kampala.
Ababaka bano bagamba nti KCCA erudde nawo okukwata abantu bano kubanga kino ky’ekisinze n’okusikiriza abaana okweyongera ku nguudo za Kampala nga basuubira nti abazirakisa gyebali era baakwongera okubawa ensimbi.