Abazannyi Ba Uganda Cranes ne Senegal Battunka Leero

0
946

Ebula ssaawa busaawa ttiimu y’egwanga ey’omupiira ogwebigere the Cranes attunke ne ginnaayo eya Senegal mu Dakar, mu mupiira ogw’omukwano nga bweyeetegekera okwambalagana ne Cape verde nga 10 ku lw’okutaano, mu zookusunsulamu abanaasamba eza Africa ez’omwaka 2019 e Cameroon.
Omutendesi alina abazannyi baasudde okuva ku mupiira gwa Ethiopia ogwaggwa 0-0, olwo naayita abalala mukaaga okuva mu KCCA FC nga bano beebeegasse ne Denis Masinde Onyango okwolekera Dakar. Okwegatta ku ttiimu eyawamu.