Abasawo B'e Nakasongola Baka

0
495

Banakazadde begwanga e Nakasongola baloopedde ababaka ba paalimenti abasaawo mu malwaliro ga gavumenti abaguza akatereke k’ebyeyambisibwa mu kuzaala mu lufuutifuuti mother kits ku mitwalo 20,000/= kyokka nga kalina kuba ka bwerere.
Ekibiinja kya babaka abasoba mu 20 ekitakabanira obulamu bwa banakazadde batalaze district ye Nakasongola okwekeneenya engeri amalwaliro ga gavumenti gyagakwatamu ensonga zabanakazadde.