Ab'e Kabasanda Bafunye Essomero

0
488

Oluvannyuma lw’emyaka ebiri nga essomero lya Lukalu Quran school lizimbibwa n’okuzzibwa obujja, olwaleero ssenkulu wa NBS Television era nga ye ssentebe wa Salam Television – Kin Kariisa, akwasizza abatuuze mu butongole ebisumuluzo by’essomero lino elyatuusiddwa ku mutindo omulungi.
Kin Kariisa era awaddeyo ceeke ya kavu wa bukadde 210 ziyambe ku kuzimba omuzikiti gwa Kabasanda ogwazimbibwa mugye 77 nga gwali gukutte mu mbinabina.