Byokola Oterekako Bambi

0
507

Abakozi bamala emyaka nga batoba okwebeezaawo n’abantu baabwe era emirundi egisinga sente bafuna zibabeezaawo, naddala okulya, okusasula amayumba, ebisale by’entambula n’okuweerera abaana.
Mu bakozi bangi eky’okuwummula emirimu kiwulikika ng’olusozo era bangi oluba okuwummula nga bakaaba obwavu olumu n’okubulwa ekyokulya. Awo nno, abamanyi ebyensimbi kyebavudde bakuba olusiisira e Jinja mu Busoga, babasomese bwebayinza okuyita mu biseera by’omu maaso nga bawummudde