Paalimenti Esitukiddemu Ku Ttemu E Ntebe

0
583

Sipiika wa paalamenti Rebecca Kadaga alidde mu ttama n’alagira minisitule ekola ku nsonga z’omunda mu ggwanga erage paalamenti engeri gy’ekuttemu eby’okwerinda mu kitundu ky’e Ntebe ettemu gyerikudde ejjembe, nga kati abantu abakununkiriza mu 20 bebaakattibwa mu bbanga lya myezi ebiri gyokka.