Omubaka Bobi Wine Yeeganye Eby'okusisinkana Pulezidenti Museveni

0
1064

Omubaka wa Kyadondo East mu Paalamenti Robert Kyagulanyi Ssentamu asambazze ebibadde bitandise okutiyinngana mu nsonda ezitali zimu nti yandiba nga yaguliddwa omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni alyoke ave mu ggwanga mu kaseera kumpi kekamu ensonga y’okukola ennongoosereza mu ssemateeka weyalinnyira enkandaggo. Bobi Wine ategeezezza nti ebyogerwa bya ppa n’akakasa nga bw’ali wamu ne banne bwebawakanya eky’okujja mu Semateeka akawayiro akakugira omuntu yenna aba awezeza emyaka 75 obutaddamu kwesimbawo ku bukulembeeze bwa Uganda.