Muka Tamale Mirundi Awonye Abatemu

0
917

Omuwabuzi w’omukulembeeze w’egwanga kunsonga zebyamawulire Joseph Tamale Mirundi waali awanda muliro era akakasa nti agenda kubutenta bonna ababadde emabega wokuwamba mukazi we nekigendererwa ekyokumutemula. Frolence Mirundi waliwo abateberezebwa okuba abamenyi b’amateeka ababadde bamusendasenda nga bamutwala awaziyivu batere bamulese abaana naye nabatebuka. Kakati Mirundi agamba nti abakoze kino banonye ekibanja awalala kuba amaze okufuna amawulire agabakwatako.