Omusuubuzi Atiddwa Mu Bukambwe

0
591

Abatamanyangamba balumbye Omusuubuzi omututumufu mu maka ge e Luweero ne nebamutemaatema misana ttuku okutuusa nebamuttirawo. Omugenzi abadde asuubula ttaka, ng’alina ebifo ebisanyukirwamu era ng’akolera ne mu kiyembe mu Kampala gy’abadde alina ekirabo ky’emmere. Omugenzi era y’abadde omumyuka wa ssentebe wa NRM e Nakasero mu Kampala. Abatuuze basigadde mu bweraliikirivu obutagambika anti abakyala basatu bebakatemulwa mubngeri ez’enjawulo mu bbanga lya sabiiti emu mu bitundu by’e Luweero.