Ababaka Abaagobwa Bakomyewo Bamyuse

0
396

Ababaka ba palamenti abagobwa olwokusiiwuka empisa nga balwana okulemesa ekiteso ekyomubaka Raphael Magyezi ekyokujja ekkomo ku myaka jja pulezidenti, leero lwebamaliriza ekibonerezo kyabwe ekyobutatula mu ntuula za palamenti satu.
Wabula ababaka bano bagambye nti wadde amagye agakuma pulezidenti gegakozesebwa okubagoba mu palamenti, bakutandikira webakoma nga balwanyisa ebago lino.
Enyamba y’abamu ebadde nga asoomooza aboogerera ebumyufu, anti leero n’essuuti bambadde myufu.