Waliwo Abakya pooca N'ebiwundu e Rukungiri

0
1107

Bazadde b’omuvubuka eyattibwa mu kwekalakaasa kw’okukuwakanya okuggya ekkomo ku myaka omuntu kw’akkirizibwa okwesimbawo ku bukulembeze bw’eggwanga battottodde obulumi bwebawulira olwa mutabani waabwe eyattibwa mu kintu ekyalabika ng’ekitono ennyo. Mzee Yorokamu Tumwine ne mukyala we nga bebazadde b’omugenzi Edson Nasasira bagamba nti olumu beekanga nga balowooza nti mutabaani waabwe aluddewo bulwi kudda era bbo mu mitima tebannakkiriza nti ddala yafa.